Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu atabukidde akakiiko k’ebyokulonda okulaga kyekubira mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

Kyagulanyi yayitiddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama okweyanjula mu buntu ku by’okumenya ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19 olunnaku olwaleero wabula talabiseeko.

Ku kakiiko, Kyagulanyi akikiriddwa bannakibiina kya NUP okuli omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, Munnamateeka Medard Lubega Ssegona, omuwandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya n’abalala.

Wabula Kyagulanyi asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Twitter, okutegeeza nti ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti akakiiko kasukkiridde okubaamu kyekubira.

Mungeri y’emu asabye akakiiko okwewala bannansi okulaba nti kali mu nkwawa za Gen Yoweri Kaguta Museveni.