Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission-UCC kiwandikidde omukutu ogwa ‘Google’ okuggalawo emikutu 14 egya You Tube olwa kuwereza bintu, ebiyinza okutabangula ebyokwerinda mu ggwanga lino.
Emikutu eginokoddwayo kuliko Ghetto TV, KKTV, Bobi Wine 2021, Namungo Media, Ekyooto TV, Map Mediya TV, Uganda Empya, Uganda News Updates, Uganda Yaffe, Trending Channel UG n’endala.
Okusinzira ku UCC, emikutu egyo, abantu basukkiridde okugyeyambisa okumenya amateeka omuli n’okunga abantu okwekalakaasa ekivuddeko abantu okufa.
Mu kiwandiiko, UCC egamba nti ebiragibwa ku mikutu egyo, tebitambulira ku mateeka omuli okulaga abantu abattiddwa, ebifaananyi ebyesitaza, abantu abakoseddwa mu ngeri eyinza okutabangula egwanga.
Wabula akulira eby’amateeka mu kitongole kya UCC Abdul Salam Waiswa bw’abadde awayamu naffe ng’ayita ku ssimu agambye nti emikutu egyo, girina okuwandiisibwa, okufuna layisinsi, ezibakkiriza okulaga ebigenda mu maaso mu ggwanga.
Mungeri y’emu asambaze ebyogerwa nti okuggala emikutu egyo, kigendereddwamu okulemesa okulaga eggwanga ebigenda mu maaso mu Kampeyini za Robert Kyagulanyi Ssentamu.