Poliisi y’e Iganga ekutte owa LDU eyali yadduka ku misango gy’okubba emmundu ekika kya SMG.
Emmundu eyazuuliddwa yabibwa ku musirikale Police Constables Omara Richard eyali agenda okukuuma amaka g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Iganga.
Oluvanyuma lw’okunoonyereza, Poliisi ekutte Magumba Hakim eyali owa LDU ali mu gy’obukulu 30 ku misango gy’okubba emmundu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Hakim akwattiddwa n’omusawo w’ekinnansi Dholimala Abbas myaka 45.
Enanga agamba nti olw’okusangibwa n’emmundu, essaawa yonna, bakubatwala mu kkooti y’amaggye.