Abatujju b’akabinja ka Boko Haram bakkirizza nti bebakulembeddemu okuwamba abayizi b’essomero sabiti ewedde ku Lwokutaano ekiro. mambuga g’eggwanga erya Nigeria.
Okusinzira kw’alipoota y’essomero abayizi ku Government Science Secondary School baabadde bagenda kwebaka, abatujju ne balumba essomero era abayizi abasukka mu 300 tebalabikako.

Wabula mu katambi akafulumiziddwa aba Boko Haram nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe Abubakar Shekau, bagambye nti bebakulembeddemu okuwamba abayizi.
Mu katambi, abatujju bagamba nti amassomero mu kitundu ekyo gasukkiridde okusomesa ebintu ebyawukana nenzikiriza y’ekiyisiraamu.
Wabula Ssabatujju Shekau agaanye okwatuukiriza omuwendo gw’abayizi abatwaliddwa, ekifo gye bakuumibwa n’okusalawo ekiddako ku ky’okubayimbula.