Abasawo mu ggwanga abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (UMA) basabye Gavumenti okuzza abantu ku muggalo mu kiseera, ekye nnaku enkulu wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Abasawo bagamba ngi abantu okutambula nga bagenda okulya ennaku enkulu, kigenda kutambuza Covid-19, ekiyinza okuvirako abantu okweyongera okulwala ssaako n’okufa.
Mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, abasawo bawanjagidde Gavumenti okuzza abantu ku muggalo sabiti ejja okutuusa omwaka ogujja mu Janwali, okusobola okutangira abantu okutambula okudda mu byalo n’okutambuza obulwadde.
Okusinzira ku Dr Frank Assimwe, akulira embeera z’abasawo mu kibiina ekibagatta ekya UMA, Gavumenti yandibadde eggalawo okuva nga 20, omwezi guno ogwa Desemba okutuusa omwaka ogujja, okusobola okutangira abantu nnyo.
Okusaba kw’abasawo, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasigadde okulangirira ekiddako.
Dr. Assimwe