Kyaddaki Poliisi ekutte omukyala Namukisa Sharon myaka 20, omutuuze ku Musajja Alumbwa e Rubaga ku misango gy’okutta omuntu lwa ssente shs 1,000.
Okusinzira ku Poliisi, omusajja Ssekate Ivan amanyikiddwa mu kusiiga enjala, sabiti ewedde yasobodde okuyoyoota enjala za Namukisa kyokka olwafundikidde omulimu gwe, kwe kusaba shs 1,000.
Namukisa yavudde mu mbeera ng’awakanya ssente ezimusabiddwa, ekyavuddeko okulwanagana era amangu ddala yakutte ekiso nakitunga Ssekate ku nsingo.
Ssekate yagudde wansi okutuusa lwe yafudde wakati mu kitaba ky’omusaayi.
Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga abikudde ekyama nti omukyala akwattiddwa ku misango gy’obutemu n’ekiso kizuuliddwa era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Eddoboozi lya Enanga