Omuyimbi munnansi we Nigeria eyazze mu Uganda okuba omuziki, Stanley Omah Didia amanyikiddwa nga Omah Lay ne munne abaasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo bagiddwako emisango gyonna era omulamuzi alagidde bonna bayimbulwe.
Omah Lay yasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi esookerwako e Makindye Jude Okumu ne banne ne bagulwako emisango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Mu kkooti, bavunaaniddwa ne bannayuganda 4 okuli abaakulembeddemu okutekateeka ekivvulu Kim Salim ne Benjamin Kabuura, eyakuliddemu ebyokwerinda Phillip Kasakya ne Ivan Ddungu agambibwa okuba nannyini ekifo awabadde ekivvulu.
Omah Lay ne banne bakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku bigambibwa nti ku Lwomukaaga ekiro, bakubye ekivvulu e Munyonyo, Kampala ekyakunganyiza abantu, ekintu ekiyinza okutambuza Covid-19.
Ku basindikiddwa ku Limanda kuliko abakyala 2 era bo basindikiddwa Kigo.
Wadde ku limanda baasindikiddwayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu, omulamuzi Okumu eyabasindise ku limanda, afulumizza ekiwandiiko, ng’omuyimbi Omah Lay ne munne Temilade Openiyi bagiddwako emisango ssaako ne manejja waabwe Muyiwa Awoniya.
Omulamuzi alagidde bayimbulwe okuleka nga balina emisango emirala egiyinza okubakumira mu kkomera.