Akulembeddemu ekibiina kya National Unity Platform-NUP ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abasirikale okusosowaza emirimu gyabwe okusinga okutambuliza emirimu gyabwe ku ntoli z’abantu ssekinomu.
Kyagulanyi bw’abadde anoonya akalulu mu bitundu bye Kisoro abikudde ekyama nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yakola kyamaanyi okusindikiriza Gen. Kale Kayihura okukola ensobi mu kiseera ng’adduumira poliisi mu ggwanga.
Kyagulanyi bw’abadde ayogerako eri abalonzi mu kisaawe kye Kisoro, agambye nti Kayihura yali musajja mulungi ddala mu kutambuza emirimu gye kyokka yakkiriza okozesebwa, oluvanyuma nasuulibwa.
Asabye abalonzi mu bitundu bye Kisoro okusaba mukulu Museveni okuddiza Kayihura eddembe lyabwe oba olyawo omuli n’okumugyako emisango.
Eddoboozi lye Bobi Wine