Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni era nga ye muduumizi w’amaggye w’oku ntikko akoze enkyukakyuka mu bitongole ebikuuma ddembe.
Okusinzira ku nkyukakyuka ezikoleddwa abadde omuwabuzi wa Pulezidenti ku bikwekweeto eby’enjawulo Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba azzeemu okulondebwa okuduumira eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya Special Forces Command (SFC) okudda mu bigere bya Maj. Gen. James Birungi.

Mungeri y’emu Maj. Gen. Paul Lokech abadde mu ggwanga erya South Sudan alondeddwa okumyuka adduumira Poliisi mu ggwanga okudda mu bigere bya Maj.Gen.Muzeeyi Sabiiti.
Sabiiti asindikiddwa ku kitebe ky’amaggye e Mbuya okutekateeka okumusindika mu offiisi endala okweyongera okutambuza emirimu.
Mungeri y’emu Martins Okoth Ochola azzeemu okulondebwa okudduumira Poliisi mu ggwanga.