Dr. Stella Nyanzi omu ku bakyala abesimbyewo ku ky’omubaka omukyala ow’a Kampala mu kulonda kwa 2021 ayogezza abalonzi obwama bw’abadde ku laale ng’anoonya akalulu.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Loodi meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago yakubye olukung’aana olusoose bukya asiibulwa okuva mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi mu ddwaliro.

Olukung’aana luno olw’okunoonya akalulu lwabadde ku kisaawe e Katwe era kwetabyeko bannakibiina kya FDC ab’enjawulo omuli abesimbyewo mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo omuli ne Dr Stella Nyanzi.

Wabula Dr Nyanzi bwe yalinye ku siteegi, ebigambo bye omuli, “Nze Dr Stella Nyanzi abasinga mumpita Nnalongo ow’ennene engazi ate nga bannange kituufu, Konsituwense yange eya Kampala nnene nnyo ate ngazi nnyo“, Omuloodi Lukwago yalabise ng’aswadde mu maaso g’abalonzi be era yalabiddwako ng’akwata engalo mu maaso n’okunyenya omutwe.

Vidiyo