Gavumenti mu ggwanga erya Kenya egumizza bannansi nti eddagala erisooka ery’okugema abantu Covid-19 lyakutuuka mu ggwanga omwezi ogujja ogwa Janwali, 2021.

Kenya, sabiti ewedde yasobodde okweyambisa  ekitongole ekya Global Vaccine Alliance Initiative (Gavi) okuteekayo okusaba okufuna ddoozi z’eddagala obukadde 24.

Okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu Mutahi Kagwe, enteseganya zigenda mu maaso era bategezeddwa nti eddagala lyakutuunka mu Janwali.

Minisita agamba nti eddagala singa lituuka, bagenda kusookera ku basawo, abasirikale, abakadde n’abasomesa okugema.

Ddoozi erigenda okuleetebwa, basuubira okugema abantu ebitundu 20 ku 100.

Mu kiseera kino Kenya erina abalwadde 93,405 nga yakafiisa abantu 1,618, olunnaku olwaleero ezudde abalwadde abasukka mu 500 ate abafudde bali 4 bokka.