Amyuka omuwandiisi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ow’okulusegere Carolin Kembabazi asindikiddwa ku Limanda ku misango gy’okulimba abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda.
Kembabazi ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze we Kireka mu Divizoni y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda Road Gladys Kamasanyu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kembabazi yasobola okweyambisa kifo kye ng’omuwandiisi wa Pulezidenti ow’okulusegere okulimba akakiiko k’ebyokulonda nti Museveni amulagidde okulagira akakiiko k’ebyokulonda okuwa emirimu abantu 3 nga bonna baluganda lwe, omuli Kenneth Magezi, Duncan Muramuzi ne Elia Abomeire okumyuka omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda.
Emisango yagiza wakati w’omwezi oguwedde ogwa November n’omwezi guno ogwa December, 2020 ku kitebe ky’akakiiko mu Kampala.
Kembabazi yegaanye emisango era omulamuzi agaanye okusaba kwe okweyimirirwa, kwe kumusindika ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga 6, Janwali, 2021.