Obunkenke bweyongedde mu ggwanga erya Nigeria mu ssaaza lye Anambra olwa batuuze abaavudde mu mbeera ne bateekera omuliro Poliisi 3 mu kitundu kyabwe.

Poliisi zikumiddwako omuliro mu kiro ekikeseza olwaleero mu kwekalakaasa nga bawakanya Poliisi okutta mutuuze munaabwe.

Abatuuze bagamba nti Poliisi yakubye omu ku batuuze ku Lwokubiri ekiro, nga bamulanga okutambula mu ssaawa za kafyu.

Omutuuze eyakubiddwa abadde avuga Takisi era yafudde ku Lwokubiri ekiro, ekyatabudde abatuuze.

Wabula mu kwekalakaasa nga bateekera Poliisi omuliro, omu ku batuuze naye akubiddwa essasi mu lubuto era naye atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Wabula omukulu wa Poliisi John Abanga, asuubiza okunoonyereza ku nsonga zo, abasirikale bonna abatwalidde amateeka mu ngalo, bakangavulwe ssaako n’abatuuze.