Abayizi abasukka mu 300 abaali bawambiddwa sabiti ewedde ku Lwokutaano abatujju b’akabinja ka Boko Haram, bayimbuddwa, okubakkiriza okudda eri bazadde mu ggwanga erya Nigeria

Abayizi nga bonna balenzi bawambiddwa ku Lwokutaano ekiro okuva ku ssomero lya Government Science Secondary School mu bitundu bye Kankara nga bagenda okwebaka era bayimbuddwa oluvanyuma lwa sabiti namba nga bali mu buwambe.

Batuuse mu kibuga nga bali mu bbaasi nga bonna bakoowu nnyo.

Abamu babadde bali mu Yunifoomu y’essomero ate nga abalala bali mu ngoye za buligyo kyokka nga bonna bali mu bigere.

Gavana w’ekitundu ekyo Aminu Bello Masari agambye abayizi 344 bakomyewo era baziddwa eri bazadde.