Poliisi mu Kampala ekutte abantu 3 ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Abakwattiddwa bakulembeddwamu omu ku besimbyewo okukiika mu Palamenti e Rubaga eyamaserengetta munna kibiina kya FDC Buwembo Habib era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.
Buwembo, abadde akulembeddemu banne okutwala okwemulugunya kwabwe eri ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama ku bantu abegumbulidde okuyuza ebipande by’abantu abesimbyewo okuva ku ludda oluvuganya.
Agamba nti, ebipande biyuzibwa obudde obw’ekiro mu ssaawa za Kafyu ne bagyamu amaaso, ennyindo, emimwa nga Byabakama ateekeddwa okulagira Poliisi okweyambisa Kkamera okuzuula abantu, abakulembeddemu okuyuza ebipande.
Buwembo agamba nti mu ssaawa za Kafyu, ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye bebakirizibwa okutambula, ekiraga nti balina omukono mu kuyuza ebipande.
Eddagala lya Buwembo
Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mum Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, bonna abakwattiddwa bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.
Bumembo ne banne babakwattiddwa ku mulyango oguyingira ku offiisi z’akakiiko k’ebyokulonda.
Eddoboozi lya Luke