Bya Nakaayi Rashidah
Abasajja 2 basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okufera, okweyita kye batali ssaako n’okubba.
Banno okuli Mwasame Julius ne Mugo John nga bonna batuuze mu disitulikiti y’e Wakiso, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Gladys Kamasanyu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa October n’omwezi oguwedde ogwa November, Mwasame ne munne befuula nti bakozi mu kitongole kya Total ne beyambisa ndagamuntu z’abantu abalala abakozi mu kitongole okuli Isigoma Derrick, Ssebadduka Martin ne Segawa Solomon okwagala okubba amafuta wabula ne bakwattibwa.
Mu kkooti, bonna begaanye emisango era omulamuzi abasindise ku limanda okutuusa omwaka ogujja nga 4, Janwali, 2021.