Abadde omubaka omukyala owe Kyotera Robinah Ssentongo afudde enkya ya leero.
Robinah afiiridde ku myaka 59 era afudde Covid-19.
Wafiiridde abadde munna kibiina kya DP era omubaka yekka okuva ku ludda oluvuganya mu disitulikiti y’e Kyotera.
Okufa kwe kulangiriddwa sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga mu Palamenti ekedde okutuula enkya ya leero.
Olw’ekiyongobero ekigudde mu Palamenti y’eggwanga, Kadaga asabye Palamenti okusirikamu okumala eddakika olw’okujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi.