Omuyimbi Spice Diana alaze nti ddala mu Uganda y’omu ku bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba.
Mu kiseera kino Spice y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda kyokka ekirungi atandise okuwamba ne mu Africa.

Nga tusemberedde okumalako omwaka 2020, Spice afulumidde ku ‘List’ y’abayimbi abalina ennyimba ezikoze obulungi mu Africa mu mwaka 2020.
Ku ‘List’ efulumiziddwa, oluyimba lwa Spice ne Harmonize ‘Kokonya’ lukutte kifo kya munaana (8).
