Gavumenti efulumizza entekateeka z’okuziika Alhajji Ali Kirunda Kivejinja abadde amyuka Ssaabaminisita ow’okubiri eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Okusinzira ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Kivejinja yafudde Covid-19 mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Wabula ku ntekateeka efulumiziddwa, omulambo gwa Kivejinja gugiddwa mu ddwaaliro Mulago ku ssaawa 3 enkya ya leero okutwalibwa e Bugweri.

Ku ssaawa 4 n’ekitundu ez’okumakya (10:30AM) wateekeddwawo okusabira omwoyo gw’omugenzi ku muzikiti gwa Kampala Mukadde wabula nga tebalina mulambo.

Mungeri y’emu wateekeddwawo okusaba okulala ku kisaawe kya Bubinga Primary, omulambo gye gutwaliddwa.

Kivejinja agenda kuziikibwa mu makaage ku kyalo Buwabe e Bugweri ku ssaawa 8 ez’emisana.

Pulezidenti Museveni asobodde okweyambisa okufa kwa Kivejinja okulabula bannayuganda okwongera okwekuuma kuba Covid ayongedde okutta abantu ate ayongedde okusasaana mu bantu.