Munnamaggye Maj.Gen Paul Lokech eyalondeddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okumyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga. olunnaku olwaleero atandiise emirimu mu butongole.
Maj.Gen Paul Lokech yalondeddwa sabiti ewedde okudda mu bigere bya Maj. Gen. Steven Sabiiti Muzeeyi, okumyuka Martin Okoth Ochola myaka 62.
Enkya ya leero, mukama we Ochola akedde kumulambuza offiisi ez’enjawulo ssaako n’abasirikale ab’enjawulo, okusobola okutandiika okutambuza emirimu.
Maj.Gen Paul Lokech ayogerwako nti musajja wabikola nnyo era muntu w’abantu kyokka talina muzannyo n’abantu abazannyira ku mirimu era y’emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni amuleese.
Maj. Gen. Sabiiti yaziddwaayo ku kitebe ky’amaggye e Mbuya okulinda emirimu emirala.
Ebifaananyi bya Daily Monitor