Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kyakatagwa mu ggoombolola y’e Kabira mu disitulikiti y’e Kyotera, omwana ali mu gy’obukulu 16 bwe yesse olwa Poliisi okusiba muganzi we.

Omwana abadde mu laavu n’omusajja ali mu gy’obukulu 25 ng’avuga bodaboda, okumala emyezi egisukka 4.

Okusinzira ku batuuze, abazadde basobodde okusuula enkesi okuzuula omusajja okumusiba, okutaasa omwana okudda mu kwerigomba ku myaka emito.

Omusajja yasangiddwa ng’ali mu nsiko n’omwana bali mu kusinda mukwano akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, kyokka omusajja olwakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, omwana yatabukidde abazadde.

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, omwana yasuubiza okukolawo akatiisa singa bagaana okuyimbula muganzi we era amangu ddala, yatambudde mpolampola neyesuula mu mwala gwe Kyakatagwa.

Wabula ssentebe wa LC 111 mu ggoombolola y’e Kabira Richard Kalanzi agamba nti omusajja atwaliddwa ku Poliisi y’e Kabira ate abatuuze bakwataganyeko nga bakulembeddwamu addumira Poliisi mu kitundu ekyo Judith Akello okunoonya omulambo gw’omwana.