Bya Nakaayi Rashidah
Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) 4 bakaabidde amaziga mu kkooti, nga basaba omulamuzi Dorothy Bagyenyi owa kkooti esookerwako ku Buganda Road, okubakkiriza okudda awaka okulya ennaku enkulu ne famire zaabwe.
Bano okuli Nsisimbo Stanley, Sekajja Robert, Nimusiima Vine ne Ainebyoona Elvis bakwattibwa 18, omwezi oguwedde ogwa November mu kwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, ng’abantu bawakanya eky’okusiba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) eyali akwattiddwa mu disitulikiti y’e Luuka ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19, wakati mu Kampeyini ezibindabinda eza 2021.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, 4 bakwattibwa okumpi n’ekizimbe kya Grand corner mu Kampala nga bazibye ekkubo omuli okwokya ebipiira ssaako n’okulemesa emmotoka n’abantu okutambula.

Nga basimbiddwa mu kkooti, nga bali ku lutambi mu nkola ya video conferencing nga basinzira ku limanda mu kkomera e Kitalya, begaanye emisango gyonna era ne basaba omulamuzi okubayimbula, okubakkirizza okulya ennaku enkulu nga bali waka.
Wabula omulamuzi Bagyenyi agobye okusaba kwabwe ne batulika ne bakaaba nga bali ku lutimbe era bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 18, omwezi ogujja ogwa January, 2021.