Waliwo ssentebe w’ekyalo mu Monicipaali y’e Apac agobeddwa oluvanyuma lw’okusangibwa ng’ali mu kusinda mukwano ne muk’omusajja ate nga mutuuze we.

Ssentebe Patrick Obia yasangiddwa ng’ali mu kwerigomba n’omukyala Lilly Edonga, mukyala wa Sam Opito mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Omu ku batuuze Grace Acio, agamba nti ssemaka Opito yakomyewo ekiro, nga mukyala we ali n’omusajja munda, era yakitegereddewo olw’amaloboozi n’okuwaana, omukyala bwe yabadde asindikira omusajja.

Ssemaka Opito yakutte essimu okubira ssentebe w’ekyalo Obia okumutaasa ku mukyala kuba yabadde asobola okumutta kyokka kyamubuseeko, essimu ya ssentebe bwe yavuze ng’ali mu nnyumba ye n’omukyala, kwe kuyimiriza emikolo gy’okuwaana.

Amangu ddala, ssemaka Opito yakubye enduulu eyasoombodde abatuuze okumenya oluggi, era ssentebe Obia yasangiddwa nga yenna awunze ali ku buliri, ali bwereere ssaako n’omukyala ate nga bonna batuuyanye.

Ssentebe Obia bw’atuusiddwa eri ssentebe wa LCII Tonny Otyang, akkiriza okwerigomba ne muk’omusajja kwe kusaba okusonyiyibwa.

Wabula abatuuze balemeddeko ne bagaana okusaba kwe era ataanziddwa ente emu, embuzzi 2 ssaako n’abatuuze okung’anya emikono ne bamugyamu obwesigwa nga ssentebe w’ekyalo ne bamusikiza James Odongo omu ku batuuze.