Abamu ku bannayuganda abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino era nga bazze besimbawo newankubadde 2021 tebesimbawo, balabudde akakiiko k’ebyokulonda okuvaayo, okutangira eby’okutulugunya abantu abesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okusembedde okwa 2021.

Bano, abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Presidential Society Council, bagamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, bisukkiridde okutyoboola eddembe ly’obuntu wakati mu Kampeyini ezigenda maaso mu ggwanga.

Okusinzira ku ssentebe w’ekibiina ekyo Joseph Elton Mabiriizi omu ku besimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016, agamba nti bakooye ejjoogo ly’ebitongole ebikuuma ddembe ate akakiiko k’ebyokulonda kasukkiridde okusirika ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

Mabiriizi ne banne okuli Elisa Werage Kiggundu, Charles Mutasa Kafeero, Yosamu Makoma n’omukyala Elizabeth Lugudde Katwe  mu kwogerako eri bannamawulire ku Speke Hotel  agamba nti singa ensonga ezo tezikolebwako, bayinza okuddukira mu kkooti oba okusaba okuyimiriza okulonda.

Eddoboozi lya Mabirizi

Ate Mutaasa Kafeero, ssaabakunzi w’ekibiina, agamba nti bakooye abantu okuttibwa nga kivudde ku jjoogo ly’ebitongole ebikuuma ddembe.

Agamba wadde okulonda kusembedde, akakiiko k’ebyokulonda kalina okuvaayo okulaga nti kalina obuyinza ku nsonga z’okulonda era ketengeredde.