Abalonzi mu disitulikiti y’e Mubende bagamba nti Uganda efunye omukulembeze omutuufu agwanidde okulembera eggwanga lino nga si mulala wabula ye John Katumba ku myaka 24.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Katumba yabadde Mubende okwongera okunoonya akalulu era yasuubiza okukola ku nsonga ez’enjawulo singa banaamulonda okwata enkasi okulembera eggwanga lino nga 14, omwezi ogujja ogwa January, 2021.

Katumba yanokoddeyo ensonga ezinyigiriza abalonzi nga zimwetagisa okulembera eggwanga lino omuli okutumbula ebyenfuna, ebyenjigiriza, ebyobulamu, okulwanyisa ebbula ly’emirimu ssaako n’okutumbula obwenkanya eri bannayuganda.

Wabula abalonzi e Mubende n’okusingira ddala abavubuka, bagamba nti Katumba ku myaka 24, okwesimbawo kabonero akalaga nti alina embavu, okutwala eggwanga mu nsi ensuubize.

Mungeri y’emu bagambye nti Katumba yakoonye ku nsonga ezibanyigiriza era tewali kubusabuusa kwonna, 2021 balina okumulonda.

Abalonzi