Famire ya munnakibiina kya FDC Patrick Oboi Amuriat bakikidde Gavumenti yakuno ensingo ku ngeri y’okutulugunya omuntu waabwe wakati mu kunoonya akalulu mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Amuriat yakulembeddemu ekibiina kya FDC okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino era y’omu ku besimbyewo, abasinze okubwa tiiyaggaasi nga Poliisi yerimbise mu kuteekesa mu nkola ebiragiro by’okutangira Covid-19 okusasaana.

Wakati mu kunoonya akalulu, Amuriat yasalawo okutambula nga tali mu ngatto oluvanyuma lwa Poliisi okumukwata ku lunnaku lwe yali agenda okusunsulwamu okuva ku kitebe e Najjanankumbi okumutuusa ku kisaawe e Kyambogo awaali emikolo era agamba nti engatto ze, zatwalibwa.

Wabula kitaawe Mzee John Amuriat ali mu gy’obukulu 90 agamba nti ali mu kutya olw’engeri ebitongole ebikuume ddembe gye bisukkiridde okutyoboola eddembe lya mutabani we Amuriat.

Mzee John Amuriat, agamba nti enneyisa y’ebitongole ebikuuma ddembe, yeviiriddeko mutabani okubwa tiiyaggaasi mu ngeri eyinza okwewalika.

John Amuriat

Ate Nnyina Rebecca Nansubuga agamba nti obukulembeze buva wa Katonda kyokka ebitongole ebikuuma ddembe, biremeddeko okulemesa mutabani we okwetaaya.

Maama Nansubuga agamba nti Amuriat, musajja wa mirembe, musanyufu nga kiswaza Poliisi okumuddako okumutulugunya.

Amuriat, eyaliko omubaka wa Kumi mu Palamenti ebisanja 3 ku mulundi guno, yazze mu bigere bya Dr. Kizza Besigye eyakulemberamu FDC okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga emirundi 4.