Bya Nakaayi Rashidah
Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu alemeddeko, agaanye okugyawo emisango egivunaanibwa omuyimbi Margaret Nakayima amanyikiddwa nga Maggie Kayima Nabbi Omukazi ne banne.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 15, omwezi oguwedde ogwa November mu bitundu bya Kampala ne Mutukula ku nsalo mu disitulikiti y’e Kyotera, Nabbi Omukazi yakweka Pasita Sirajje Ssemanda eyali anoonyezebwa ku misango gy’okubba abantu ensimbi.
Nabbi Omukazi ali ku misango 3 gy’okufera abantu ensimbi n’abantu 3 omuli Pasita Siraje Ssemanda, munnamateeka Jimmy Arinaitwe abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ssaako ne Pasita Franklin Mugisha Mondo akyalina okwewozaako.
Ensimbi ezogerwako kigambibwa baziggya ku bantu mu bitundu bye Bombo, Luweero, Iganga, Kaliro, Tororo ne mu Kampala wakati wa 2014 ne 2020.
Wabula mu kkooti, munnamateeka waabwe Ronald Lutalo asabye omulamuzi okugyawo emisango bw’ategezezza nti emisango egyo tegiriyo wabula mijingirire.
Omulamuzi alemeddeko ku nsonga za Pasita Mondo okweyanjula mu kkooti kyokka munnamateeka Lutalo agambye nti Pasita Mondo mulwadde wa Covid-19 nga tasobola kuggya mu kkooti.
Omulamuzi y’omu agaanye okubagyako emisango era bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 6, omwezi ogujja ogwa Janwali, 2021.
Nabbi Omukazi asigaddeyo ku limanda mu kkomera e Kigo.