Ekibiina ekigata abakyala abasamba ogw’ensimbi mu ggwanga erya South Africa mu kibuga Cape Town ekya Sex Workers Education and Advocacy Task force (Sweat) kirabudde Poliisi okomya okubakwata ne basibwa, wakati mu kutyoboola eddembe lyabwe.
Mu South Africa, abakyala abalenga omukwano beyongedde obungi wakati w’emyaka 20 kwa 40, era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki ne siriimu ayongedde okusasaana.
Olw’abakyala okwetunda, amaka geyongedde okusasika olw’abasajja okwetanira abakyala abalenga omukwano ssaako n’abakyala okusulawo obufumbo, okunoonya ensimbi ezamangu.
Wabula abakyala bano bagamba nti Poliisi esukkiridde okubakwata ne bagulwako emisango nga singa batuuka mu kkooti, tewali misango gyonna giraga nti bali mu kwetunda, ekintu ekityoboola eddembe lyabwe, nga baggulwako misango emirala omuli okutaataganya ebyokwerinda.
Mungeri y’emu bagamba nti okwetunda, bangi bagufuula mulimu okunoonya ensimbi okwebezaawo kyokka Poliisi okubakwata kyongedde okusindikiriza bakasitoma.
Wabula omu ku bakyala agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agamba nti abasirikale baagala akaboozi ka bwereere nga singa bagaana okubasanyusa, y’emu ku nsonga lwaki bakwattibwa.