Ebipya byongedde okuzuuka ku mwana ali mu gy’obukulu 16 eyesse olwa Poliisi okusiba muganzi we ku kyalo Kyakatagwa mu ggoombolola y’e Kabira mu disitulikiti y’e Kyotera.

Omwana abadde mu laavu n’omusajja ali mu gy’obukulu 25 ng’avuga bodaboda kun kyalo.

Okusinzira ku batuuze, abazadde basobodde okusuula enkesi okuzuula omusajja okumusiba, ekyayongedde okunyiza omwana.

Omusajja akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande yasangiddwa ng’ali mu nsiko n’omwana Tumukunde Gloria bali mu kusinda mukwano kyokka omusajja olwakwattiddwa, omwana yatabukidde abazadde.

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, Gloria ku myaka emito yasuubiza okukolawo akatiisa singa bagaana okuyimbula muganzi we eyabadde amusuubiza okumuwasa n’okumuwa ssente z’obunyama buli kawungeezi.

Poliisi olwagaanye okuyimbula muganzi we, Gloria yatambudde mpolampola neyesuula mu mwala gwe Kyakatagwa, mwe yafiiridde.

Wabula ssentebe w’ekyalo Stephania Nassaka agamba nti omwana abadde mujjananyina era ku kitundu ye omwana asoose okwetta olw’okumuganda okwegadanga.

Nassaka agamba nti wadde omulambo gwazuuliddwa, Gloria yalese abatuuze nga bali mu ntiisa.

Eddoboozi lya Nassaka