Munnamateeka Nicholas Opiyo, eyeegulidde erinnya mu kulwanirira eddembe ly’obuntu asindikiddwa ku limanda okutuusa ku Mmande sabiti ejja nga 28, omwezi guno ogwa Desemba.

Opiyo asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Douglas Singiza ku misango ku misango gy’okusangibwa n’essente mu ngeri emenya amateeka ezigambibwa nti zakukusiddwa.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 8, October, 2020, Opiyo yafuna emitwalo 34 eza ddoola nga ziyisibwa mu bbanka mu linnya lya Chapter Four Uganda mu ngeri emenya amateeka n’ensimbi okuzeyambisa era mu kumenya amateeka.

Opiyo mu kkooti
Opiyo mu kkooti

Mu kkooti, Omulamuzi agobye okusaba kwa Opiyo okweyimirirwa bw’ategeezeza nti kkooti ye, terina buyinza okuteeka mu nkola okusaba kwe, era kwe kumusindika ku limanda mu kaduukulu ka Poliisi olw’amakkomera okujjula okutuusa ku Mmande sabiti ejja.

Opiyo yakwattiddwa ku lunnaku Olwokubiri, abantu abali mu ngoye ezabuligyo okuva ku Resitolanti emu e Kamwokya ne bamutwala ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku misango e Kireka gye bamuggye okumutwala mu kkooti.