Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo kye Miseebe mu disitulikiti y’e Mityana, omutuuze Tom Ssebaguma bw’attiddwa abantu abatamanyiddwa.

Ssebaguma ali mu gy’obukulu 40 abadde avuga bodaboda era omulambo gwe gusangiddwa okumpi n’omugga Nakatongole.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala, abatemu oluvanyuma lw’okutta Ssebaguma, pikipiki ye ekika kya Bajaj Boxer UEC 192F yatwaliddwa.

Kawala agamba nti mukyala w’omugenzi abategezezza nti bba yavudde awaka akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, okukima mulamu we eyabadde ava e Masaka kyokka teyasobodde kudda waka.