Ebipya byongedde okuzuuka ku mukyala Lovinka Nakakande eyattiddwa, abadde omutuuze ku kyalo Njagala Bwami mu ggoombolola y’e Kasangombe mu disitulikiti y’e Nakaseke.
Okusinzira ku Poliisi, omusajja Geoffrey Ssesanga myaka 27 nga naye abadde mutuuze ku kyalo ekyo, yesse era omulambo gwe gusangiddwa nga gulengejja ku muti, oluvanyuma lw’okutta Nnyazaala we Nakakande.
Nakakande kati omugenzi, yatemeddwa nga beyambisa ejjambiya era omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga kigambibwa Ssesanga yamusse ng’ali ne banne olw’okutabangula amakaage.
Ssesanga yali yawasa muwala wa Nakakande emyaka egisukka 3 nga balina omwana omu, kyokka kigambibwa Nnyazaala we teyali musanyufu.
Wabula mu sabiti 2 eziyise, Ssesanga yafuna obutakaanya ne mukyala we, omukyala kwe kunoba era y’emu ku nsonga lwaki Ssesanga yakutte ejjambiya ng’ali ne banne okulumba nnyazala we okumutta olw’ebigambo by’abadde amwogerera.
Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Savannah, agamba nti wadde Ssesanga yesse, balina okunoonya abantu bonna abenyigidde mu ttemu, bakangavulwe.
Ssemwogerere agamba nti Ssesanga yali yasuubiza dda okwetta singa amala okutta Nnyazaala we Nakakande, ekintu kye yakoze.