Abantu 4 bafiiriddewo, maggulu kkumi ebadde etisse omusenyu bwe yevulungudde emirundi egiwera ku luguudo oluva e Kapeeka-Butalangu mu disitulikiti y’e Nakaseke enkya ya leero.

2 ku bafudde kuliko Robert Masaba ne Godfrey Kyonco nga bakozi ku siteegi y’e Kapeeka ku mmotoka ezitambuza omusenyu ate abalala abafudde tebamanyiddwa.

Abafudde babadde ku maggulu kkumi waggulu ku musenyu namba UBH 065H kyokka emmotoka bwe yefudde kwe kubatta.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Isah Ssemwogerere, maggulu kkumi eremeredde ddereeva nga bali mu lutobazi lwe Naluvule ne yeevulungula.

Ddereeva asobodde okusimatuuka akabenje n’abantu abatamanyiddwa era badduse olw’okutya Poliisi okubakwata.

Ssemwogerere agamba nti emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Nakaseke okwekebejjebwa nga Poliisi bw’enoonya ddereeva gyaddukidde n’okuzuula ekituufu ekivuddeko akabenje.