Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okutta muwala we gw’alumiriza nti abadde asukkiridde okwerigomba n’abasajja ab’enjawulo ku kyalo.
Omwna Apio Lilian ali mu gy’obukulu 16 yeyattiddwa ku kyalo kye Alaka mu disitulikiti y’e Amolatar.
Ku Poliisi, taata agamba nti muwala we ku myaka emito abadde alina omusajja ku kyalo Kiryanga mu ggoombolola y’e Acii era abadde asukkiridde okutoloka awaka, okugenda okusinda omukwano.
Kigambibwa nga 23, era omwezi guno ogwa Desemba era omwana Apio yabadde wa muganzi okwerigomba, ekyayongedde okunyiza omuzadde.
Taata yavudde mu mbeera era ku myaka 40 yakubye muwala we, ekyavuddeko okufa kwe.
Mu kiseera taata ali ku kitebe kya Poliisi ekya Amolatar ku misango gy’okutta omwana.