Omulamuzi wa Kkooti enkulu erwanyisa obulyake n’obukenuzi Jane Kajuga ayimbudde munnamateeka w’eddembe lyo’buntu Nicholas Opiyo.
Omulamuzi amuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka ssente bukadde 15 ez’obuliwo, okuwaayo ppaasipooti, era alagiddwa okweyanjula mu kkooti buli sabiiti yeyanjule eri omuwandiisi wa kkooti ate abamweyimiridde 4 okuli munnamateeka Francis Gimara ne mikwano gye Dr Sylvia Namubiru Mukasa, Kibuuka Diana Ninsiima, Akitenge Isabella bonna basabiddwa obukadde 100, buli omu ezitali za buliwo.
Bannamateeka ba Opiyo nga bakulembeddwamu David Mpaga basabye omuntu wabwe ayimbulwe ku kakalu ka Kkooti kubanga ddembe lye erimuweebwa Ssemateeka.
Mungeri y’emu bagambye nti Opiyo musajja agondera amkateeka, alina amaka agamanyiddwa mu zzooni y’e Kazinga, e Kiwatule mu Kampala, nga ne ppaasipooti ye eri mu mikono gya Poliisi ate nga munnamateeka omutendeke, tasobola okwebulankanya.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Stanerly Moses lubadde luwakanyizza eky’okuyimbula Opiyo mbu ayinza okutaataganya okunoonyereza okukyagenda mu maaso mu kiseera kino ate ng’ali ku musango gwa naggomola.
Opiyo okuyimbulwa, asinzidde mu kkomera e Kitalya nga mu kkooti etudde ku Buganda Road, basobodde okweyambisa enkola ya Video Conferencing.
Opiyo yakwattibwa nga 22, omwezi guno ogwa Desemba okuva ku Resitolanti emu e Kamwokya ku misango gy’okufuna ssente mu ngeri emenya amateeka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 8, October, 2020, Opiyo yafuna emitwalo gya ddoola 34 nga ziyisibwa mu bbanka mu linnya lya Chapter Four Uganda mu ngeri emenya amateeka nga n’ensimbi zakweyambisibwa era mu kumenya amateeka.