Kyaddaki Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku by’okutta eyaliko Kamputeni wa ttiimu y’ebikonde eya Bombers Zebra Mando Ssenyange eyakubiddwa amasasi ekiro ku Lwokubri.
Ssenyange myaka 39 baamuttidde okumpi n’amakaage mu zzooni ya St. Francis e Bwaise ku ssaawa nga 7 ez’ekiro mita nga 400 okuva mu makaage.
Wabula Pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerako eri eggwanga ekiro kya leero okwagaliza bannayuganda omwaka omuggya ogwa 2021, agambye nti Ssenyange yattiddwa amaggye.

Omugenzi Zebra Mando Ssenyange
Omugenzi Zebra Mando Ssenyange

Museveni agamba nti Ssenyange yasabiddwa amaggye okuvaayo mu nnyumba nga baliko ensonga zebali mu kunoonyerezaako kyokka yayitidde manju wa nnyumba okudduka abasirikale.
Agamba nti gye yaduukidde, yasanzeeyo abasirikale abalala kyokka bwe yasabiddwa okuyimirira, yagaanye nalumba abasirikale okulwana, kwe kumukuba amasasi.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

Pulezidenti Museveni agamba nti Ssenyange abadde musajja mulungi, abadde muwagizi wa NRM kyokka waliwo amawulire geyabadde afunye nti waliwo abavubuka baali mu kutendeka e Kawempe okukola obulumbaganyi ku bantu babuligyo, ekintu ekyabadde ekikyamu.
Asuubiza okwongera okunoonyereza ku nsonga y’okutta Ssenyange, ng’alina okwongera okwebuuza ku mukyala w’omugenzi ssaako n’omwana n’okuvaayo okutegeeza eggwanga ku by’okutta Ssenyange.
Ssenyange aziikiddwa olunnaku olwaleero e Masuulita.