Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alemeddeko okweyongerayo ne Kkampeyini ze wadde akakiiko k’ebyokulonda kavuddeyo ku nsonga y’okulwanyisa Covid-19.
Akakiiko k’ebyokulonda kayimiriza kkampeyini zonna mu bitundu bya Buganda bisinga obungi omuli Luweero, Kampala, Wakiso n’awalala ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana.
Wabula Bobi Wine agamba nti alina okugoberera entekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda eza Kkampeyini era olunnaku olwaleero alina okugenda mu disitulikiti y’e Mpigi ne Bukomansimbi.
Agamba nti wadde ebitongole ebikuuma ddembe biremeddeko okumulemesa okutuuka eri abalonzi, bisukkiridde okumenya amateeka era tewali muntu yenna agenda kubaggya ku mulamwa.

Mu kwogerako eri bannamawulire mu makaage e Magere, Bobi Wine agambye nti okunoonya akalulu kiri mu mateeka era akakiiko k’ebyokulonda kalina okuvaayo okuvumirira ejjoogo ly’ebitongole ebikuuma ddembe kyokka ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti akakiiko k’ebyokulonda tekali mu mitambo gya kulonda.

Agamba nti wadde kkampeyini zayimiriziddwa mu bitundu ebimu, Mpigi ne Bukomansimbi teziri ku lukalala.