Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP)  Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde akakiiko k’ebyokulonda okwewala okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutabangula eggwanga mu kulonda okusembedde nga 14, Janwali, 2021.

Kyagulanyi agamba nti bafunye amawulire nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama ne banne mu kakiiko batekateeka okulwawo okusindika ebyeyambisibwa mu kulonda mu bitundu bya Kampala, Wakiso n’awalala okusobola okulemesa abantu okulonda naye byonna bimenya mateeka.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage e Magere ng’awa bannayuganda obubaka bwe obw’omwaka, Kyagulanyi agambye nti ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti Byabakama tali mu mitambo gya kalulu, aliwo nga kifaananyi.

Mungeri y’emu asabye Pulezidenti wa Uganda era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okukuuma ekigambo kye n’okuwa emyaka gye ekitiibwa.

Agamba nti mu kusooka Pulezidenti Museveni yali musaale okuvumirira abakulembeze abalwa mu ntebe okuviirako ensi zaabwe okutabanguka kyokka naye alemeddwa okukkiriza okuwaayo obuyinza mu mirembe.

Ate eri Bannayuganda bonna, Kyagulanyi abasabye okweyambisa okulonda okusembedde okukyusa obukulembeze mu ggwanga kuba okulonda nga 14, Janwali, 2021, kugenda kusalawo nnyo ebiseera bya Uganda eby’omu maaso.

Abasabye okwewala okwenyigira mu bikolwa byonna ebiyinza okutabangula eggwanga wabula okweyambisa amassimu gaabwe aga ‘Smart Phone’, okukwata buli ekigenda mu maaso mu ggwanga ku lunnaku lw’okulonda.

Kyagulanyi mungeri y’emu alabudde nti yafunye amawulire nti waliwo ebitongole ebikuuma ddembe ebigenda okwenyigira mu kubba akalulu wabula agamba nti ebikolwa ebyo biyinza okutabangula eggwanga.