Omukyala Zari Hassan alaze nti ddala ‘Kitooke kifa nsalira’ era singa omukyala yenna yefaako, yekuumira ku mulembe n’okusikiriza buli musajja mu nsi.

Zari mukyala muzadde, alina abaana bataano (5) nga basatu (3) yabazaala mu mugenzi Ivan Ssemwanga ate babiri (2) mu muyimbi omutanzaniya Diamond Platnumz.

Zari ku myaka 40 asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi nga yenna alaze ethambi eryamyuka ate wadde mukyala akuliridde, akyalabika bulungi.

Ng’omukyala omulala yenna, Zari agezaako okulaga bakyala banne nti obulungi kwefaako era y’emu ku nsonga lwaki yazzeemu okusikiriza Platnumz okuddamu okulabirira abaana ssaako n’okufuna omukisa okuddamu okugikwatako oluvanyuma lw’okwawukana mu 2018.

Zari ku myaka 40, endabika ye, esinga bangi ku bawala abato okulabika obulungi era kabonero akalaga nti singa omukyala yenna yeekolako, emyaka sikikulu.