Omuyimbi Eddy Kenzo ayongedde okulaga nti ddala musajja w’amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino Uganda.
Wadde omwaka 2020 Kenzo era agumazeeko bulungi nga talina mukyala kyokka akoze bulungi nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.

Ku 100.2 Galaxy FM, oluyimba lwa Kenzo olwa Tweyagale, luwangudde ennyimba zonna 102 ezaakola obulungi mu mwaka oguwedde ogwa 2020.
- Tweyagale – Eddy Kenzo
- Munda Awo – B2C MusicUg
- Tugende Mu Church – Daddy Andre
- Repeat It – Azawi
- Tonelabila – Daddy Andre & Angella Katatumba
- Malamu – Pallaso
- Sharp Shooter – Chozen Blood
- Nakyuka – Sheebah
- Jangu – Winnie Nwagi
- Like I Do – The Baninas n’endala.
Kenzo okweyongera okuwangula mu 2020 ate nga mu Uganda ye muyimbi yekka alina BET, kabobnero akalaga nti ddala musajja akyali w’amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba.