Wakati mu kulwanyisa Covid-19 mu nsi yonna, mu ggwanga erya Tanzania bannansi bali mu kulya bulamu era ebya Covid tebaagala kumanya.
Mu Tanzania, Gavumenti yakoma okutegeeza ensi omuwendo gw’abantu abalina Covid-19 mu April, 2020 era mu kiseera kino tewali amanyi muwendo gw’abalwadde e Tanzania.
Mu kiseera kino mu nga Kenya, Rwanda, Uganda, ebivvulu tebikkirizibwa olw’omuwendo gw’abantu abalina Covid-19 okweyongera ssaako n’okufa, e Tanzania abantu bali mu kulya bulamu, abayimbi bakkirizibwa okukuba ebivvulu.

Mu kiro ekikeseza olwa leero mu kibuga Dodoma, omuyimbi Diamond Platnumz akubye ekivvulu ekisombodde nnamungi w’omuntu mu kutongoza laadiyo ya Wasafi Fm wakati mu kire ky’enkuba.

Mu Tanzania, abantu tebaagala kumanya era balya obulamu nga tebaagala kuwuliza bya Covid-19.