Ekitongole ekikuumka ddembe ekya Poliisi kivuddeyo ku bigambibwa nti kyatulugunyizza omuyimbi Buken Ali amanyikiddwa nga Nubian Lee ne kanyama Ssebuufu Edward (Eddie Mutwe).
Okuva ku lunnaku Olwokutaano, waliwo ebifaananyi ebiri mu kusasaanira emikuttu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book, ebiraga nti Poliisi yatulugunyizza Nubian Lee ne Eddie Mutwe ku Poliisi e Masaka era mbu bali mu mbeera mbi.
Wabula Poliisi esobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okulaga embeera ya Nubian Lee ne Eddie Mutwe okuva ku Poliisi e Masaka okusangulawo ebigambibwa nti baatulugunyiziddwa.

Poliisi egamba nti ebifaananyi ebikyamu okutambuzibwa, kigendereddwamu okutatana ekitongole kya Poliisi kyokka essaawa yonna abakwate bakutwalibwa mu kkooti.