Mutabani wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era omuduumizi w’eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC) Komando Lt.Gen.Muhoozi Kainerugaba atabukidde Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku mpisa ze.

Pulezidenti Museveni ne Lt.Gen.Muhoozi Kainerugaba
Lt.Gen.Muhoozi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okutegeeza nti ye Munyankore kyokka teyebuzibwako ku nsonga ya Bobi Wine okuwasa Barbie Itungo Kyagulanyi kuba enneyisa ye, eraga nti empisa n’obulombolombo bwa Banyankore tabutegeera.

Wabula ne Bobi Wine alaze nti wadde Muhoozi Komanda, asobodde okumwanukula mu bwangu era agambye nti Abanyankore bamuwadde ebintu eby’enjawulo omuli erinnya lya Musinguzi n’omukyala Barbie, ekiraga nti kati mutabani.
Agamba nti Abanyankore balina omukwano ate tebali mu bya mawanga nga Muhoozi era amusabye okukomya okuwebuula eggwanga lya mukyala we n’abazadde abamuzaalira kabiite.

Komando Lt.Gen.Muhoozi agamba nti Bobi Wine okuzannya ebyobufuzi eby’ekito y’emu ku nsonga lwaki asukkiridde okuwebuula abakuuma ddembe omuli abasajja n’abakyala, ekintu ky’obuswavu.

Wabula ne Bobi Wine era amwambalidde era agambye nti abakuuma ddembe balina okuweebwa ekitiibwa olw’omulimu gwabwe okukuuma eggwanga wabula agamba nti kyabuswavu Muhoozi okwambala ekyambalo ky’eggwanga.
Bobi Wine agamba nti waliwo bannayuganda abattiddwa n’okutulugunyizibwa era waliwo bannayuganda abanyivu ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

