Famire z’abantu bannakibiina kya NUP abaakwatibwa e Kalangala Sabiiti ewedde ku Lwokusatu batuuse ku kkooti e Masaka, okulinda abantu baabwe, abasuubirwa okuleetebwa essaawa yonna.
Abaakwatibwa bali 126 era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abantu 99 bagenda kutwalibwa mu kkooti e Masaka ku misango mukaaga (6) omuli okukuma mu bantu omuliro, okulumya abasirikale, okwonoona ebintu ssaako n’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.

Ate abantu 27, Enanga agambye nti bagenda kutwalibwa mu kkooti esookerwako e Kalangala ku misango gyegimu.
Abakwate, baakwattibwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yali agenze okukuba Kampeyini mu bitundu bye Kalangala.