Essuubi lya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuwangula omusango lyongedde okukendeera era kati asemberedde kulinda 2026 okuddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.
Ku lunnaku Olwokutaano, kkooti ensukkulumu yazzeemu okutuula okuwulira okusaba kwa Bobi Wine mwe yabadde asabira kkooti emukkirize okwongera obujjulizi obulala mu musango gwe mwawakanyiza obuwanguzi wa ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bweggwanga mu kulonda kwa 14, Janwali,l 2021.
Kyagulanyi ng’ayita mu kkampuni za bannamateeka ttaano ezaakulembeddwa Lukwago & Company Advocates yataddeyo omusango mu kkooti Ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa Museveni.
Kkampuni 5 kuliko PACE Advocates, Sewankambo & Co. Advocates, Wameli & Co. Advocates, Kiwanuka, Kanyago & Co. Advocates ze ziwomye omutwe mu musango.
Agamba nti okulonda kwetobekamu emivuyo mingi okuviira ddala mu kiseera abeesimbyewo we baalina okutambulira okwebuuza ku bantu era ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Museveni kubanga okulonda kwalimu emivuyo egy’enjawulo okwali n’okukyusa ebiri ku ffoomu kwe bajjuza ebivudde mu kulonda.
Kkooti yawa Kyagulanyi nga 14, February, 2021 okutwala obujjulizi bwonna mu kkooti kyokka bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Wameli bagamba nti okuwamba abantu baabwe n’okusibwa y’emu ku nsonga lwaki baalemwa okutwalayo obujjulizi bwonna mu kkooti nga 14, February, 2021.
Bazzeeyo mu kkooti okusaba bakkirizibwe okuleeta obujjulizi obulala wabula abalamuzi 9 aba kkooti ensukkulumu nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo bagaanye okusaba kwe era basuubiza okuwa ensonga zaabwe gye bugya.
Kkooti okulemesa Kyagulanyi okutwala mu kkooti obujjulizi obulala, kabonero akalaga nti agenda kufuna okusoomozebwa, okulaga abalamuzi obujjulizi obwetaagisa bwe bayinza okusinzirako okusazaamu obuwanguzi bwa Museveni.
Okuwangula omusango gwonna mu kkooti, olina okuba n’obujjulizi wabula Bobi Wine embeera eriwo eyongedde okulaga nti talina bulungi bujjulizi bwetaagisa okumegga Pulezidenti Museveni.
Mu kulonda kwa 14, January, 2021, Museveni yafuna obululu obuli mu bukadde 6 (58.38%) ate Bobi Wine yali mu bukadde 3 (35%) wabula mu kkooti Bobi Wine agamba nti obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni busazibwemu.
Pulezidenti Museveni okulaga nti naye yetaaga obuwanguzi, yayungudde bannamateeka abagundivu mu ggwanga omuli Ebert Byenkya okuva mu Byenkya, Kihika & Co. Advocates, Donald Nyakairu ono ava mu kkampuni ya ENSafrica, Edwin Karugire akola ne Kiryowa Kiwanuka mu K&K Advocates (Kiryowa Kiwanuka y’omu ku baatandikawo kkampuni eno mu 2001) ne munnamateeka omukugu mu by’ensimbi Enock Barata.
Mu wiiki 2 kkooti eremeseza Bobi Wine okwongera obujjulizi mu kkooti n’okusaba Museveni okuleeta ebiwandiiko ebiraga nti agwanidde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.
Bobi Wine agamba nti amaanyi gali mu bantu era tewali ngeri yonna kkooti y’abalamuzi 9 gye bayinza okusalirawo bannayuganda bonna.