Omuntu eyabadde ku kamera ng’omuyimbi Namukwaya Hajara Diana amanyikiddwa nga Spice Daina akwata ka vidiyo yagudde ku kyokya, amukunamidde katono amukube ekitone mu maaso era bw’aba yabadde musajja, yakiguddeko.
Spice kirabika eby’okuswala yabivaako n’asigala kwekolera ssente na kusanyusa bawagizi be mu mbeera yonna.
Ku mukutu ogwa Instagram, akutte ka vidiyo k’oluyimba lwe Ready ne Fik Fameica kyokka bambi, ayogezza abantu obwama.
Mu kavidiyo, akunamidde abadde akwata vidiyo ssaako n’okunyeenya ku mabeere era abantu bawuliddwako nga bawogana nti naye Spice n’okusingira ddala abasajja era basigadde bewunya lwaki abadde alemeddeko okusabbalaza abaami.
Mu Uganda , y’omu ku bayimbi abalina talenti era avuganya n’abayimbi abasajja ku ‘Award’ ez’enjawulo, ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo.
Reigning Zzina Awards Female Artist of The Year Spice Diana features Beckie Johnz on Good Crazy
Mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa newankubadde agamba nti alina omusajja kyokka akyali wa nkukutu.
Agamba alina emyaka 25 mbu yazaalibwa nga mu 1996 era mu kiseera kino y’omu ku bakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda.
Alina ennyimba omuli Ndi mu Love, Omusheshe, Anti Kale, Kwata Wano, Kyuma, Best Friend era bambi akolagana bulungi ne bayimbi banne.
Mu kisaawe ky’okuyimba akifunyemu ebintu eby’enjawulo omuli ennyumba mu bitundu bye Makindye ku luguudo lwe Salaama, emmotoka ezebeeyi, ettaka, Ambasadda ne Kampuni ez’enjawulo era y’omu ku bayimbi abali mu mbeera enungi.
Spice yatandiika okuyimba mu 2013 era bw’aba alina emyaka 25, kitegeeza yatandiika okuyimba mu Uganda okumanyika ng’alina emyaka 17.
Manejja Roger Lubega!
Roger ye manejja w’omuyimbi Spice Daina era akoze nnyo mu kutumbula talenti ye n’okumukwasizaako mu kwekulakulanya.
Roder naye talina mukyala amanyikiddwa era abamu ku bannayuganda bagamba nti alina mu laavu ne Spice newankubadde tewali muntu yenna alina bwiino ku nsonga ezo.
Gyebuvuddeko Spice yabuuzibwa oba ddala ali mu mukwano ne manejja we Roger wabula yabyegaana.