Bya Zainab Ali
Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga akambuwadde era amangu ddala alagidde, ekibanda ky’emmotoka ekizimbibwa mu kitundu kye Kololo okumenyebwa ate mu bwangu.
Kadaga okulagira n’okuyisa ekiragiro kidiridde Omubaka we Kasilo County mu Palamenti Elijah Okupa, okwemulugunya ku nsonga y’okuzimba ekibanda ekyo.
Okupa agambye nti kyewunyisa okuba nti ekifo webali okuzimba ekibanda ky’emmotoka e Kololo, Palamenti y’omunaana (8), yayisa ekiragiro okuzimbawo woteeri eri ku mutindo gw’ensi yonna mu biseera bya CHOGAM.
Mungeri y’emu agambye nti abakulu mu kitongole kya KCCA bateekeddwa okuvaayo okunyonyola eggwanga engeri gye bawadde olukusa, omuntu atamanyiddwa mu kiseera kino, okuzimba ekibanda ky’emmotoka e Kololo mu kitundu omuli amaka g’abantu.
Wabuka ne Sipiika Kadaga atabukidde mu Palamenti akawungeezi ka leero era agambye nti kyewunyisa nti bingi ku bitongole bya Gavumenti tebikyakola mirimu gyabyo ssaako n’abo, abagamba nti bakafulu mu kuteekeratekera ekibuga.
Kadaga kwe kulagira nti ekibanda ekiri mu kuzimbibwa kimenyebwewo ate mu bwangu.