Nakaayi Rahidah

Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu butongole, ataddeyo okusaba kwe mu kkooti ensukkulumu okuggyayo omusango gwe.
Kyagulanyi yali yaddukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde nga 14, Janwali, 2021.
Wabula ku ntandikwa ya sabiiti eno, Kyagulanyi yalagidde bannamateeka be okwanguwa okuggyayo omusango mu kkooti era yawadde ensonga ez’enjawulo nti kkooti eremereddwa okulaga nti betengeredde mu ntambuza y’emirimu, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okusisinkana mukulu Museveni emirundi egisukka 3 ssaako n’okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti, obuyinza okumuyamba okuwangula omusango.
Wabula enkya ya leero, bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona bakedde mu kkooti, okutwalayo ebiwandiiko ebiraga nti baggyeyo omusango.
Mu kkooti, ekedde okutuula abalamuzi 9 nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo balagidde bannamateeka ba Kyagulanyi okweyambisa ennaku 2 enkya ku Lwokuna ne ku Lwokutaano, okuwaayo ebiwandiiko nga bannamateeka bonna abali musango, bakubye ebirayiro, ebiraga nti bakkiriza okuggyayo omusango.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo asuubiza nti singa bateekayo ebiwandiiko byabwe mu nnaku 2, okusaba kwabwe okuggyayo omusango mu kkooti gwakutandiika okuwulirwa ku Mmande ya sabiiti ejja.
Wabula saabawandiisi w’ekibiina ki NRM, Justine Kasule Lumumba agamba nti ebigenda mu maaso mu kkooti, Kyagulanyi ne banne bali mu katemba, kwonoona biseera byabwe.