Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) ayongedde okutiira abakulembeze okuzigala ku mulamwa, wakati mu kutambuza emirimu gyabwe.

Enkya ya leero, Kyagulanyi akedde kusisinkana Bakansala ne Bameeya okuva mu Kampala, Wakiso ne Mukono mu makaage e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abamu ku bakulembeze e Magere

Mu kwogera kwe, ayongedde okubiriza abakulembeze abalonde mu kibiina ki NUP, okusosowaza ensonga ezinyigiriza abantu.

Kyagulanyi mu ngeri y’emu agambye nti obuli bwenkanya mu kkooti ensukkulumu y’emu ku nsonga lwaki yaggyeyo omusango, gwe yali yatwalayo ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okwabaddewo omwezi oguwedde ogwa Janwali nga 14.

Bobi Wine ng’ayogerako eri abakulembeze

Ate eri abakulembeze abalonde abegwanyiza obukulembeze obw’enjawulo omuli obwa sipiika mu lukiiko lwa KCCA, Kyagulanyi akambuwadde era kwe kulabula abakulembeze bonna okusigala ku mulamwa okusinga okudda mu kulwanira ebifo ebitagenda kubayamba.