Kkooti ensukkulumu eyongezaayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, okuwuliriza okusaba kwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuggya omusango mu kkooti nga kivudde ku bannamateeka be
Kyagulanyi yali yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021 kyokka sabiiti ewedde, yasabye okuggya omusango mu kkooti, gutwalibwe mu kkooti y’abantu.
Agamba nti, abalamuzi okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti, y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuggyayo omusango gwe era okusaba kwe, kwateekeddwa mu Kyapa kya Gavumenti ku Mmande ya sabiiti eno.
Wabula kkooti eyongezaayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano okuwuliriza okusaba kwe, nga kivudde ku bannamateeka be nga bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona (Akalya Amagwa), okutegeeza nti layisinsi zaabwe ezibakkiriza okuwuliriza emisango, zaggwako ku ntandiikwa ya sabiiti eno nga 1, omwezi guno Ogwokusatu.
Amangu ddala abalamuzi 9 nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, bayongezaayo omusango okutuusa olunnaku olw’enkya, kisobozese bannamateeka ba Kyagulanyi, okufuna layisinsi ez’akaseera, ezibakkiriza okutambuza omulimu gwonna mu kkooti.
Munnamateeka Ssegona agambye nti ekibiina ekigata bannamateeka ekya Uganda Law Society kye kikola ku Layisinsi zaabwe era akikoze okutegeeza kkooti kuba ategeera ensonga z’amateeka.
Ate Munnamateeka wa NRM Oscar Kihika agamba nti olwa bannamateeka abangi abali mu ggwanga, kisoboka bulungi ddala layisinsi y’omuntu yenna okugwako kyokka nekitwala ennaku okufuna endala olw’abantu abangi, abetaaga okuzza layisinsi zaabwe obugya.
Sabiiti eno, munnayuganda Job Richard Matua yaddukidde mu kkooti enkulu mu Kampala n’okusaba ekitongole kya Uganda Law Society okubonereza bannamateeka omuli omuli Anthony Wameli, Erias Lukwago, Shamim Malende, Muwanda Nkuyingi, Abudallah Kiwanuka, Medard Lubega Segona ne Asuman Basalirwa nti basukiridde okuzannya eby’obufuzi musonga za kkooti, ekintu ekiwebuula ekitongole ekiramuzi.
Ssentebe wakakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangirira Museveni owa National Resistance Movement (NRM) nga January 16, 2021 ku buwanguzi n’obululu 5,851, 037 olwo n’addirirwa Kyagulanyi eyafuna obululu 3,475,298 kyokka Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abiwakanya.